OMUTUBA GWA BANDA ENAKIGALALA

OKUKYALA KW’OWAKASOLYA K’EKIKA KY’ENGO – OMUTAKA MUTESAASIRA KU MUTUBA GWA BANDA E NAKIGALALA MU BUSIRO NGA 15-07-2017:

 

 

 

Ku Lwomukaaga nga 15-07-2017. Ab’omutuba gwa Bandabalogo Ssemisambwa Basajjabatambule e Nakigalala Mu Busiro nga bakulembeddwamu Omutaka Ssebanja Henry omukulu w’omutuba guno b’akyaza Ow’akasolya Omutaka Mutesaasira Keeya Tendo Namuyimba II ku butaka e Nakigalala mu Busiro. Guno gwe gumu ku mikolo Jjajja Mutesaasira gye yatandika ng’alambula bazzukulu be, n’abakulembeze abalala ku Masiga N’emituba egy’etuukira mu kika. Abakungu b’atuukira mu kasolya okufuna olwendo lw’amazzi awamu n’entabaluganda.

Oluvannyuma Omutaka n’adda mu kiddaala omukolo ne gutandika n’okuyimba: oluyimba lwe ggwanga, ekitiibwa kya Buganda n’oluyimba lw’ekika nga bwerulambikiddwa wammanga, Okuba Omubala Gw’ekika awamu n’esaala.

OLUYIMBA LWE KIKA KY’ENGO:

Ye Ffe Abaana Ba Buganda Abazirango Tutuuno Tuze Butesagga Tuwera Okuzimba Buganda Enywevu Naggwano Okukira Ensi Zonna Zewaasanze!

Obutaka Bwe Kika Kyaffe Buli Butesaasira Butambala E Bukesa Gye Tuva.

Akabbiro Kasimba Abaana N’abazzukulu Mbabulidde Ku Kika Kyaffe!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Ebitaguju Ab’engo Tetulya! Tukitendeke N’abaana Bamanye Nti Okuva Edda N’edda Ab’engo Tukola N’amaanyi Okw’ezimba Mu Nsi Yaffe!

Mu Mirimu Gya Buganda Emikulu, Ye Ffe Abagiriinya Wonna Mukimanye – Okwalula Abaana Beŋŋoma Mulimu Gwa Kika Omutongole Gwe Twaweebwa!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Katonda Ow’obuyinza Tukuwongera Ekika Kyaffe, Obukuumi N’obugabirizi Bwo Bitubengako Bonna Abazzukulu Ba Mutesaasira Mu Nsi Yonna!

Nze Okwagala Buganda Ku Mutima Tekinkakwa Kuba Eno Nsi Yange – Kalimikansinjo – Beene – Nannyinimu Wangaala Ofuge En’ensi!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

Omutaka Mutesaasira yawerekerwako ab’amasiga n’emituba bano wammanga:

  1. Akulira ab’amasiga ow’essiga Kalyango e Buvvi – Omutaka Kintu Samuel
  2. Ow’essiga lya Namuyimba e Kibuye mu Kyaddondo
  3. Ow’essiga Lya Sserukulubambaza e Ntolomwe Butambala
  4. Ow’essiga Lya Mwanje e Nnono mu Busujju
  5. Omukiise w’omutaka Ssekulima e Nakyesa mu Bugerere
  6. Omukiise w’omutaka Ssegiriinya e Lubanja mu Ssingo
  7. Omumyuka wa Katikkiro w’essiga lya Kavuma e Dajje mu Busujju – omuwandiisi w’olukiiiko lw’abamasiga mu kika ky’engo.

 

Omutaka Mutesaasira era yawerekerwako abakulembeze mu kika bano wammanga:

  1. Katikkiro w’ekika – Omukungu Stephen Kabugu
  2. Omukubiriza w’enkiiko (Speaker) – Omukungu Mwanje Ishaak Musomesa
  3. Omuwandiisi – Omukungu Ssegiriinya John Baptist
  4. Ow’eby’ettaka – Omukungu Ssekidde Vicent
  5. Ssaabawolereza W’ekika – Omukungu Lubowa Daniel Balyokwabwe
  6. Minisita wa “Protocol” – Omukungu Kalyango Balireete
  7. Ow’eby’entambula – Omukungu Lubowa Ramathan
  8. Omuwanika – Omukungu Mwanje Felix Ssemuju
  9. Ow’ebyobuwangwa – Omukungu Kiriibwa Mukasa
  10. Ow’abavubuka – Omukungu Mwanje Saad
  11. Ow’ebyobulamu – Omukungu Omusawo Namwanje Harriet
  12. Ow’ebyamawulire – Omukungu Eliab Kadduukirizi
  13. Ow’ebyabakyala – Omukungu Hajati Namazzi Sarah
  14. Omukunzi – Omukungu Lubowa Mathias
  15. Ow’eby’obulambuzi – Omukungu Keeya Kavuma
  16. Katikkiro Eyawummula – Omukungu Teruggwamaddu Kavuma

ABAYOGERA  KU MUKOLO GUNO BE BANO WAMMANGA:

  1. Ssentebe W’ekyalo Nakigalala Zone A Kijoona – Omwami Ssekidde Wilson:
  2. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira mu kitundu kye.
  3. Yebaza Banda olw’okukola obulungi ekitundu kye mu by’enkulakulana nga enguudo n’amasanyalaze.
  4. Omutongole – Omwami Sam Ssebandeke Kaggwa:
  5. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira.
  6. Yasaba abatuuze okugenda abayingize mu bitabo bye Obwa Kabaka bubamanye.

Oluvannyuma waliwo okusanyusa abagenyi n’amazina ag’ekinnansi.

Gano olwaggwa, ekita ky’ayanjulwa eri Omutaka Mutesaasira.

  1. Omukungu Kalyango Balireete – Minisita Wa “Protocol” Mu Kika:
  2. Yayaniriza ba Jjajja ab’amasiga, abakungu mu kika n’abazirango bonna.
  3. Yategeeza nga Banda bw’ali Omubumbi wa Kabaka w’ebyogero, ebibya, n’ebirala.
  4. Yasomesa nti Banda mutabani wa Mutesaasira.
  5. Oluvannyuma yayanjula abakungu n’abataka abaali ku mukolo nga bwe balambikiddwa waggulu.
  6. Yategeeza abazirango ensonga lw’aki Jjajja Mutesaasira yali akyalira amasiga n’emituba egy’etuukira;
  • Okumanya abazzukulu gye bava.
  • Okumanya abamasiga gye basibuka.
  • Okulaba obukiiko obukulembera amasiga n’emituba.
  • Okumanya ensonga z’ettaka ly’obutaka bwa masiga bwe ziyimiridde.
  • Okumanya eby’afaayo by’omutuba.
  • Okumanyagana n’okuyiga..
  1. Yalangirira olugendo lw’omutaka Mutesaasira olugoberera omukolo guno;
  • 19 – 08 – 2017 ku ku Mutuba Gwa Ssegiriinya e Lubanja mu Ssingo.
  1. Yebaza Omutaka Okukyalira Abazzukulu

Wano weyayitira Omuwanika Ayogereko eri Abazirango.

  1. Omukungu Mwanje Ssemuju – Omuwanika W’ekika:
  2. Ono yayaniriza abagenyi.
  3. Yayanja Namutayika W’ekika (WorkPlan). Ono yakolebwa abakulembeze mu kika okutambulizibwako ekika mu mwaka 2017 nga wa Bukadde 161. Zino za kuva mu Masiga, ensawo ya katikkiro, abakungu, bazirango twezimbe, abazirango abali emitala wamayanja, n’amakubo amalala.
  4. Ssente z’akusaasanyizibwa mu bitongole ebyenjawulo mu kika.
  5. Yasaba buli Muzirango aweeyo wakiri Emitwalo Ebiri (20,000/-) buli mwaka ku lw’ekika.

 

  1. Ssaabalangira W’omutuba – Omwami Ssebuwufu Gerald:
  2. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira, abamasiga n’abakungu.
  3. Yasomesa nti Abajoona – Babumbi ba Kabaka.
  4. Katikkiro W’ekika Ky’engo – Omukungu Kabugu Stephen:
  5. Yayaniriza Mutesaasira, ab’amasiga, Banda, Abazirango awamu n’abazzukulu.
  6. Yalaga essanyu olw’enteekateeka z’okukyala kwa Jjajja zitambula bulungi.
  7. Yasaba abazirango b’ogere eri abakungu.
  8. Yategeeza Abazirango nti olukiiko lutuula buli lwamukaaga olusooka mu mwezi. Yabasaba bakiike bateseze ekika.
  9. Tetulina butuulo. Kino ky’ekigenda okusooka.
  10. Yasaba buli Muzirango afune Akatabo “Muzirango 2017” ku mutwalo gumu (10,000/-).
  11. Yasaba Omukungu akola ku nsonga za mawulire atambuze akatabo ku buli Ssiga n’emituba.
  12. Yasaba buli muzzukulu aweeyo enamba y’essimu.
  13. Yebaza abawagira omupiira nga tiimu y’ekika esamba e Wankulukuku.
  14. Yakaatiriza ekya buli omu awaayo ku lwa tiimu y’ekika okufuna akakonge akakasa omuwendogw’awaddeyo (receipt).
  15. Yategeeza Abazirango nti tulina okukoma okusabiriza ng’ekika. N’olwekyo tugende nga tweteeseteese mu kulamaga e Butesaasira mu Ntenvu (December 2017).

Omukungu Kalyango Balireete – Minisita Wa “Protocol” Mu Kika yategeeza nga okukyala okuddako bwe kuli ewa Nakatanza e Nakukuba nga 22 – 07 – 2017.

Bw’atyo n’ayita Ssaabalangira w’omutuba gwa Banda ono n’ayita Omutaka Banda Balogo Ssemisambwa.

 

  1. Omukulu W’omutuba gwa Banda E Nakigalala Mu Busiro – Omutaka Banda Balogo Ssemisambwa Basajjabatambule Kawonawo:
  2. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira , ab’amasiga, n’abagenyi abalala bonna.
  3. Yayanjula Ekita bazzukulu be kyebatonera Mutesaasira okugabula abazzukulu.
  4. Yayanja alipoota empandiike nga y’eno wammanga:

7.1 OKWOGERA KW’OWOMUTUBA GWA BANDA HENRY SSEBANJA E NAKIGALALA – BUSIRO.

Jjajjaffe Mutesaasira Tendo Namuyimba tukwaniriza nnyo wano w’ozze ku Mbuga ya Banda e Nakigalala.

Abagenyi abakulu mwena abazze tubanirizza, bajjajja abakulu ab’amasiga n’abazzukulu mwenna abazze okutwaniririzako Jjajjaffe ow’akasolya k’Ekika ky’engo Omutaka Mutesaasira, tubasanyukidde.Abazzukulu abava mu Mutuba gwa Banda mbanirizza nnyo.

Jjajja, nze akwaniriza nze Henry Ssebanja Banda owe 13 mu bigere by’aba Jjajjange abaasookawo. Ndi muzzukulu waTtigo Lubowa eyabeeranga e Kabowa mu Kyaddondo era nga agalamidde wano ku mutala Nakigalala Busiro,ndi muzzukulu wa Paulo Kalevu Kamya agalamidde e Kitavuja mu Mawokota; ndi muzzukulu wa Banda Basajja Batambule nga ye Banda eyasooka. Nva mu Luggya lwa Malikko Kizza e Namasuba mu Kyaddondo nga yali mujoona wa Ssekabaka Kimera. Nva mu Lunnyiriri lwa Kakumba Masulubu e Namasuba mu Kyaddondo. Nze ow’Omutuba Gwa Banda e Nakigalalamu Busiro. Ndi Muzzukulu Wa Mutesaasira – Butesaasira Bukesa Butambala. Ndi musajja muganda, neddira Ngo! Akabbiro: Kasimba.

Mu kika ky’engo kye muva musibukamu eŋŋoma ez’ogerera mu Ngo

 

Omubala Gwaffe Guvuga Bwe Guti:
Gwe Ngo, Gwe Musota X2
Bazannya n’Engo nga bagiyita Emmondo
Ekyana Ky’engo Ky’egiriisa
Ekimala Abasajja Nnyago
Akaala K’engo Namuzisa
Nabbuto Gwe Mpita
Yaah…..Yaah…..Yaah

 

Banda Balogo Y’ani ? (Mu Bimpimpi):

Banda Balogo Ssemisambwa Basajja Batambule ye Mutaka atuula ku mutala Nakigalala Kijoona nga y’eddira NGO. Omutaka ono yaweebwa omutala Nakigalala (edda eky’ayitibwanga Bukule) olw’omulimu gw’obubumbirizi okuva ku Ssekabaka Kimera.

Omulangira Kimera eyazaalibwa Namasole Wanyana oluvannyuma bwe yatuuka okujja e Buganda, n’atuuzibwa ku ntebe y’obwa Kabaka nga bali bumu ne Katumba Jjajja w’e Buganda, ye Katumba n’aweebwa omutala Bbira, ate ye Banda naawebwa Omutala Nakigalala (Bukule) olw’omulimu gwe yakolanga mu kirombe e Bunyoro.

Ensibuko Ya Banda:

Banda muzzukulu wa Kabaka Kintu ava mu baana ba Kabaka Kintu be yazaala. Abamu kw’abo kwe kwali.

  1. Nangoma ng’ono yamuwa e Buluuli
  2. Lukedi ng’ono yamuwa Bukedi
  3. Winyi ng’ono yamuwa e Kibulala

Bano Be Banda Abazze Baberawookutuuka Ku Banda Ssebanja Aliwo Kati:

  1. Banda Ssemisambwa Basajja Batambule Kawonawo
  2. Banda Wambwa
  3. Banda Lukambuuzi
  4. Banda Kaliba
  5. Banda Maliko
  6. Banda Kalevu
  7. Banda Ttigo Lubowa
  8. Banda Zzinga
  9. Banda Kalongo
  10. Banda Paul Kamya Kalevu
  11. Banda Maliko Kizza
  12. Banda Ssemuju Aloysius
  13. Banda Ssebanja Henry

Era ng’ogyeko Banda Henry Ssebanja – abasigadde bonna bagalamidde Nakigalala Busiro.

 

Emirimu Gya Banda:

Banda y’abumba EKYOGERO ekikola emizizo kubwa Kabaka bwa Buganda.

Banda y’abumba n’amakula nga: Ensumbi, Ensuwa, Ebibya, Entamu, N’ebirala.

Era ne mu mwaka gwa 1993 ku matikkira nakola emikolo e Naggalabi Buddo ne mu 1997 era nakola emikolo.

Ennyiriri Za Banda:

  1. Olunnyiriri lwa Lubowa Kamya Emmanuel Bagandabaasi Ssemisambwa e Nakigalala mu
  2. Olunnyiriri lwa Masulubu e Namasuba mu Kyaddondo.
  3. Olunnyiriri lwa Gganyana e Kaliti mu Busiro.
  4. Olunnyiriri lwa Zawaaya Mwanje e Kitavujja mu Mawokota.
  5. Olunnyiriri lwa Ssekisaka e Ndejje mu Kyaddondo.
  6. Olunnyiriri lwa Ibrahim Kavuma e Ssaka mu Busiro.
  7. Olunnyiriri lwa Ziribasanga e Kabowa mu Kyaddondo.
  8. Olunnyiriri lwa Mumiransonga Yowana e Ndejje Kyaddondo.

okusoomozebwa:

Jjajja okusokera ddala nina ekizibu ky’okufuna awava ebbumba erikozesebwa okubumba oluvannyuma lw’okugibwako ettaka awavanga ebbumba.

Ssebo Omutanda yasiima n’asalako ekitundutundu awavanga ebbumba n’atwalawo akolerewo emirimu gye.

Okwebaza:

Ntwala omukisa guno okw’ebaza Jjajjaffe Mutesaasira n’abamasiga mwena olw’okujja okutukyalirako wano ewaffe e Nakigalala.Twebaza nnyo ab’ebitiibwa n’abakungu ba Ssaabasajja abasobodde okuba naffe wano olwa leero.

Twebaza nnyo abazzukulu mwena abayambyeko mu kutegeka olunaku luno ate n’abo abawaddeyo obudde bw’abwe okuba naffe wano.

Nze,_________________________

HENRY SSEBANJA
OW’OMUTUBA GWA BANDA E NAKIGALALA

7.2 Omutaka Banda yayanjula b’akola nabo eri Jjajja Mutesaasira:

  1. Omuwi wa Magezi – Omulongo Kato
  2. Ssentebe – Omutaka Banda Balogo
  • Ssaabalangira – Omwami Ssebuwufu Gerald
  1. Abawandiisi – Ssebandeke Sam ne Hon. Teopista Nabulya Ssentongo
  2. Omuwanika – Bagandabassi Kamya Lubowa
  3. Omukunzi – Kakumba George William
  • Abakiise – Ab’ennyiriri Bonna.

Yategeeza nga bwe yali agenda okukyusamu mu bakulembeze.

Yalopera Jjajja nti Ekibumbiro ekikulirwa Omutaka Emmanuel Mukasa Mombya; asigadde omu n’ekibumbiro kigudde olubege.

Yategeeza Omutaka Mutesaasira nti ettaka ly’asalibwako ekitundu omwali muva ebbumba, kuliko n’abasenze.

Yebaza Jjajja okulonda muzzukuluwe okukulira ekitongole ky’ebyettaka mu kika.

Yasaba ebisoomoza ebingi bireme kutwawula.

Yakkiriza nti obujumbize bwe butono.

Yategeeza nga Jjajja Mutesaasira bwe yamuwa obuvunaanyizibwa bw’okutawulula entalo mu kika. Yategeeza nti abantu ebiwandiiko babisoma kifuulanenge.

Yasaba Jjajja atunule mu nsonga z’ettaka mu kika.

Yebaza Omutaka Mutesaasira okumukyalira mu mbuga ye.

Yaloopa abazzukulu olw’obutayagala kujja mu nkiiko awamu n’abennyiriri obutayagala kutuuza nkiiko.

Yategeeza Mutesaasira nga bazzukulu be bwe baagaana emikolo gy’okumanyagana! Enkiiko z’omutuba tezituula!

Yasaba Jjajja Mutesaasira akirize abazzukulu okw’ogeranga ensonga zaabwe eri abakulu mu kika.

Yayanjula ebirabo bya Jjajja Mutesaasira okuva mu bazzukulu.

Yayanjula Omukyala N’abaana eri Omutaka Mutesaasira awamu n’abennyiriri.

OmukunguPatrick Nelson Byekwaso – Mayor W’ekitundu:

  1. Yayaniriza abagenyi. Yeddira Nvubu – Muzzukulu wa Kayita.
  2. Yatenda embeera ennene ennyo eyamulagibwa abazirango abakuŋŋaana.
  • Yasaba ab’aliwo okukubira Katikkiro wa Buganda – Charles Peter Mayiga mu ngalo olw’enkwata gy’akuttemu ensonga mu Buganda.
  1. Yaloopa eri Omutaka Mutesaasira nti Abazzukulu batunze ebibanja nti ababigula ekiseera kijja kutuuka baddeyo!
  2. Ekiseera kituuse Abaganda abatunda basooke kw’ebuuza ku banaabwe.
  3. Yebaza abazirango olw’okutegeka omukolo gw’okumanyagana.
  • Yaloopa nti abantu bagayaavu, bazaala nnyo, abaana tebabasomesa, abalenzi tebaagala kuwasa mbu abakyala balya nnyo.
  • Abaami tebateeka bitiibwa mu bakyala babwe.
  1. Yakubiriza abalenzi bawase nga bato.
  2. Tuteekereteekere bakyala baffe nga tukyali bato.
  3. Yasaba tuve ku bya Museveni atusibyeko obwavu – tukubirize abantu bakole awamu n’okulabirira abaana. Bave mu kubatibula.

Kalabalaba w’omukolo yayita Jjajja Banda ayite Omukubiriza w’abamasiga ayogereko eri abazirango:

  1. Omukubiriza W’abamasiga – Omutaka Kalyango E Buvvi – Kintu Sam:

Yayaniriza Jjajja Mutesaasira, ab’amasiga, meeya, abakungu mu kika awamu n’omukyala Teopista Ssentongo.

Yasaasira Omutaka Banda olw’okufiirwa mwannyina.

Ekika bwe kikuŋŋaana tulina kuba basanyufu kuba oyo akutuula okumpi aba Muganda wo ddala!

Yategeeza abazirango nga Abataka abamasiga bano: Ssekulima, Kiseeyeye, Kabandagala ne Kavuma e Dajje; bwe baali abalwadde!

Yayanjula Katikkiro eyawummula – Omukungu Teruggwamaddu Kavuma.

Nakigalala ekibaluma bulagajavu obuva mu butakwatagana mu kika.

Banda alina obuvunanyizibwa obw’okutuukiriza nga ayambibwako Kalyango e Buvvi. Wano weyasabira Omutaka Mutesaasira asooke asindike ab’omutuba gwa Banda ewuwe okugonjoola ensonga ezibatawaanya.

Yalagirira eddagala lino:
1. Emirandira gya makaayi, oluyange lwa kasooli, ebikoola bya ovakedo, ebya mapeera, enzirugaze –  ffumba, bwe liggya teekamu “Sweet Pepsi.” = Okulwanyisa Sukaali.
2. Salasala empuumumpu, ffumba mu mazzi, woza onyweko mpolampola = Okulwanyisa Puleesa.

Yayanjula abataka beyayita ab’aliwo ku mukolo guno:
1. Omutaka Namuyiba e Kibuye
2. Omutaka Mwanje e Nnono
3.Omutaka Sserukulubambaza e Ntolomwe
4.Omutaka Banda e Nakigalala
5. Abasigire b’abataka: Ssekulima e Nakyesa, Ssegiriinya e Lubanja, Kavuma e Dajje ne Nkulo e Bwende.

Yategeeza nga Banda bwe yasoomoza olw’okuwulira ebigambo ebimugambibwa n’abiteeka mu nkola era nga ateekateeka abaana okuba abatuuze abalungi ab’omu maaso.

Yategeeza Omutaka Mutesaasira ng’abamu bwe bawummula abaana tebamanyi wakutwala nsonga. Yasaba Omutaka akkirize kino bakisalire amagezi.

Yasiima ab’omutuba gwa Banda olw’okubakyaza.

Yategeeza ow’envubu nga bw’alina emikolo mu kika ky’engo e Buvvi.

Wano n’ayita Omutaka Mutesaasira ayogereko eri Abazirango.

 

  • OMUTAKA MUTESAASIRA – Keeya Tendo Namuyimba II:
  1. Yebaza Banda olw’okukunga Abazzukulu era n’ayaniriza abajja
  2. Yasaba Banda agume atwale obuvunanyizibwa y’etereeze kuba okusoomoza kwe kutufuula abasajja.
  • Yebaza Ssebanja olw’okuuma olusozi n’omukyala amufumbira n’okumulabirira.
  1. Yalaga essanyu olw’omumbejja Hon. Teopista Nabulya Ssentongo n’okwebaza omwami.
  2. Yaggumiza ebigambo bya meeya: “Kikafuuwe Omuganda okusaka emmere!”
  3. Tuvudde mu kwemanya ffe b’ani.
  • Yenyamira kuba tw’asuula empisa, ennono! Yasaba buli muzirango y’efumitirize kya bali mwogerako ng’omuzirango!
  • Yategeeza abamu nga bwe batamanyi mannya gebetisse kyegategeeza. Amannya amazungu ebyago twabimala naye eby’erinnya ly’ekika tetubikwatangako.
  1. Yategeeza ku lukiiko lwa buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi.
  2. Yasaba abazirango okwagala ekika kuwerekerwe ebikola.
  3. Tuve mu kw’erimba nti abaguze ettaka tebalikuuma.
  • Yabasaba bateeketeeke abaana, yebaza abaleeta abaana tubagazise eggwanga awamu n’olulimi lwabwe.
  • Yebaza abazirango abakulembeze. Era n’asaba abalala bennyigire mu bukulembeze.
  • Yebaza Meeya okusomesa Omukungu Ssekidde – Ow’ebyettaka mu kika.
  1. Yasaba abazirango bawagire ekika mu nsimbi.
  • Yasaba Meeya ayambe ku “bursaries”. Mu kyo, Meeya yatuwa “bursary” bbiri (2). Katikkiro yakwasibwa obuvunanyizibwa bwa “bursary”.
  • Omutaka Mutesaasira yakuŋŋanganya ku lw’omutuba gwa Banda – ensimbi okuvugirira embalirira y’ekika.(Mw’avamu Emitwalo Ana Mu Etaano – 450,000/-). Yakubiriza Abazirango buli we bakuŋŋaana okw’ekolangamu omulimu baleke ssente mu nsawo eziba ziriteekateeka olukiiko oluddako.
  • Omutaka yebaza buli yawaayo. Yaggumiza nti Buganda Bika. Awatali bika, tewali Buganda. Buli muzirango ayigirize abaana ennono.
  • Yasaba abalenzi bawase, bazaale, bafumbirwe emmere.
  1. Yasaba tukuume ettaka, twagale ebika byaffe, twagazise abaana Buganda.
  • Yasabira abawala abatalina babeezi bafune, abatalina mirimu bagifune.

Omutaka yafundikira akubwa ebifaananyi n’abakungu, abakulembeze, ab’ennyiriri mu Mutuba gwa Banda awamu n’abazirango abalala.Yasimba Omuti ogw’ekijukizo, neyebaza Banda olw’ebirabo ebyamuweebwa. Omukolo gw’afundikirwa n’ekyemisana nga Omutaka Banda agabula abagenyi be.

  • Okusomozebwa:
  1. Abazirango tebajumbira mukolo mu bungi nga bwe b’ali basuubirwa.

 

BIWANDIIKIDDWA

MWANJE BRIAN
OMUGIRIINYA