KATIKKIRO


KATIKKIRO W’EKIKA KY’ENGO
Omuk. Stephen Ddungu Kabugu
Mbalamusiza abazirango bassebo ne bassebo. Mwebale kututeekamu bwesige wamu ne
bakulembeze banange ab’olukiiko olukulembeze mu kika kyaffe eky’engo.
Twebaza abazirango olw’okuyimirizaawo ekika kyamwe mu by’ensimbi ezituyamba okutambuza
emirimu era netubasaba obutakoowa okutuusa ekika bwe kinaafuna amakubo
amalala mwekiggya ssente ezikola emirimu.
Mu mwaka oguyise ogwa 2018, tusobodde okutuuzanga enkiiko zaffe ez’abazzukulu era z’akweyongera okutuula buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi okuva ku ssaawa 4 okutuusa ssaawa 7 ku Tavern Woods Restaurant e Kabuusu – Rubaga
ekyatuweebwa Omuzirango Ssinabulya Evans okutuuzangawo enkiiko z’ekika ku bwerere era tumwebaza.