ESSIGA LYA MWANJE ENNONO

OKUKYALA KW’OWAKASOLYA K’EKIKA KY’ENGO – OMUTAKA MUTESAASIRA KU SSIGA LYA MWANJE E NNONOMAGONGA MU BUSUJJU NGA 17-06-2017:

 

 

Ku Lwomukaaga nga 17-06-2017. Ab’essiga lya Mwanje e Nonno Magonga mu Busujju nga bakulembeddwamu Omutaka Mwanje

omukulu w’essiga lino b’akyaza Ow’akasolya Omutaka Keeya TendoNamuyimba II Mutesaasira ku butaka bw’essiga mu Lubiri lwa Kabaka Kintue Nnono Magonga mu Busujju. Guno gwe gumu ku mikolo Jjajja Mutesaasira gye yatandika ng’alambula bazzukulu be, n’abakulembeze abalala ku Masiga n’emituba egy’etuukira mu kika. Kino ky’atandikira ku Ssiga lya Nakabambagiza e Nalugamba mu Busujju nga 13-05-2017, n’ewa Namuyimba e Kibuye mu Kyaddondo nga20-05-2017.

Omukolo gw’atandika n’okwaniriza Omutaka Mutesaasira ku Lubiri lwa Kitaawe Kabaka Kintu ng’abamwaniriza b’akulemberwamu mutabani we Mwanje omukulu w’olubiri luno awamu n’essiga – wano yawandiika mu kitabo ky’abagenyi era n’atandika okulambula ekifo. Omutaka Mutesaasira yatuukira ku Lusisira lw’ebyobulamu olw’akubibwa mu Lubiri ku lunaku olwo nga luno lw’akulemberwamu Omukungu W’ebyobulamu mu kika ky’engo Omusawo Namwanje Harriet. Omutaka era yalambuzibwa ebifo ebimu mu Lubiri ng’ekigwa, ekibira n’ebifo ebirala. Abagenyi oluvannyuma b’atuula mu weema ez’ategekebwa omukolo ne gugenda mu maaso n’okuyimba: oluyimba lwe ggwanga, ekitiibwa kya Buganda n’oluyimba lw’ekika nga bwerulambikiddwa wammanga.

OLUYIMBA LWE KIKA KY’ENGO:

Ye Ffe Abaana Ba Buganda Abazirango Tutuuno Tuze Butesagga Tuwera Okuzimba Buganda Enywevu Naggwano Okukira Ensi Zonna Zewaasanze!

Obutaka Bwe Kika Kyaffe Buli Butesaasira Butambala E Bukesa Gye Tuva.

Akabbiro Kasimba Abaana N’abazzukulu Mbabulidde Ku Kika Kyaffe!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Ebitaguju Ab’engo Tetulya! Tukitendeke N’abaana Bamanye Nti Okuva Edda N’edda Ab’engo Tukola N’amaanyi Okw’ezimba Mu Nsi Yaffe!

Mu Mirimu Gya Buganda Emikulu, Ye Ffe Abagirinnya Wonna Mukimanye – Okwalula Abaana Beŋŋoma Mulimu Gwa Kika Omutongole Gwe Twaweebwa!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

 

Katonda Ow’obuyinza Tukuwongera Ekika Kyaffe, Obukuumi N’obugabirizi Bwo Bitubengako Bonna Abazzukulu Ba Mutesaasira Mu Nsi Yonna!

Nze Okwagala Buganda Ku Mutima Tekinkakwa Kuba Eno Nsi Yange – Kalimikansinjo – Beene – Nannyinimu Wangaala Ofuge En’ensi!

Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.

Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!

Jjajja Mutesaasira yawerekerwako ab’amasiga n’emituba bano wammanga:

  1. Akulira ab’amasiga ow’essiga Kalyango e Buvvi – Omutaka Kintu Samuel
  2. Ow’essiga lya Namuyimba e Kibuye mu Kyadondo
  3. Ow’essiga lya Nakabambagiza e Nalugamba mu Busujju
  4. Ow’essiga lya Banda e Nakigalala mu Busiro
  5. Ow’essiga lya Serukulubambaza e Ntolomwe mu Kooki
  6. Ow’omutuba gwa Ssegiriinya e Lubanja mu Ssingo
  7. Ow’omutuba gwa Kiwedde e Mpongo mu Gomba
  8. Omumyuka wa Katikkiro w’essiga lya Kavuma e Dajje mu Busujju – omuwandiisi w’olukiiiko lw’abamasiga mu kika ky’engo.

 

ABAYOGERA  KU MUKOLO GUNO BE BANO WAMMANGA:

  1. Katikkiro W’essiga Lya Mwanje E Nnono – OmwamiKeeya Robert:
  2. Yayaniriza abagenyi n’ayanjula Olukiiko olukulembera Essiga lya Mwanje e Nnono nga kuliko abantu abalala mukaaga nga be bano wammanga:
  3. Nakyejwe Mawulisiya – Wa Bakyala
  4. Ssinabulya Godfrey – Muwandiisi
  • Dr. Godfrey Sseruwu – Mawulire
  1. Omutaka Mwanje – Muwanika
  2. Kalyango Godfrey (DEO – Gomba) – Mukiise ku Lukiiko luno
  3. Ssinabulya Robert – Mukiise ku Lukiiko luno.

 

 

 

  1. Omukungu Kalyango Balireete – Minisita Wa “Protocol” Mu Kika:
  2. Yayaniriza ba Jjajja ab’amasiga, abakungu mu kika n’abazirango bonna.
  3. Yakulisaayo Jjajja Mutesaasira emitala wa Mayanja gye yakiikirira Buganda mu nkuŋŋaana mu Amerika.
  4. Yategeeza Abazirango nti Jjajja wakutuuka wansi eri Abazirango bonna.
  5. Yategeeza ng’omutaka Mutesaasira gy’anaddamu okukyala oluvannyuma lw’omukolo guno nga 16 – 07 – 2017 ku Mutubagwa Banda e Nakigalala mu Busiro.
  6. Yayanjula abakulembeze mu kika abaliwo ku mukolo guno nga be bano wammanga:
  7. Katikkiro w’ekika – Omukungu Steven Kabugu
  8. Omumyuka wa katikkiro w’ekika asooka – Omukungu Bomboka Kakumba Lawrence
  • Omukubiriza w’enkiiko (Speaker) – Omukungu Mwanje Ishaak “Musomesa”
  1. Omuwandiisi – Omukungu Ssegiriinya John Baptist
  2. Oweby’ennono – Omukungu Kiriibwa Mukasa
  3. Ow’ebyobulamu – Omukungu Omusawo Namwanje Harriet
  • Oweby’entambula – Omukungu Lubowa Ramathan
  • Omuwanika – Omukungu Mwanje Felix Ssemuju
  1. Owa Bakyala – Omukungu Hajjati Namazzi
  2. Omukunzi W’abazirango – Omukungu Lubowa Mathias
  3. Ow’abavubuka emizannyo n’okwewummuza – Omukungu Mwanje Saad
  • Owamawulire – Omukungu Kadduukirizi
  • Owebyobulambuzi – Omukungu Godfrey Keeya Kavuma
  • Katikkiro W’ekika eyawummula – Omukungu Teruggwamaddu Kavuma
  1. Minisita wa “Protocol” – Omukungu Kalyango Balireete

 

  1. Omukungu era yayanjula bazadde be n’aboluganda beyayita nabo kw’olwo.
  2. Yategeeza abazirango ensonga lw’aki Jjajja Mutesaasira yali akyalira amasiga n’emituba egy’etukira;
  • Okumanya abazzukulu gye bava.
  • Okumanya abamasiga gye basibuka.
  • Okulaba obukiiko obukulembera amasiga n’emituba.
  • Okumanya ensonga z’ettaka ly’obutaka bwa masiga bwe ziyimiridde.
  • Okumanya eby’afaayo by’essiga.
  • Okumanyagana n’okumalawo obukuubagano.
  1. Yayanjula Namutayiika W’ekika n’asaba “Omukubiriza W’enkiiko – Speaker” amwogereko.
  2. Omukungu Mwanje Ishaak Musomesa – Omukubiriza W’enkiiko (Speaker):
  3. Yayaniriza abamasiga, abakulembeze, abazirango bonna n’abagenyi.
  4. Yakulisaayo Jjajja Mutesaasira emitala wa Mayanja gye yakiikirira Buganda mu nkuŋŋaana mu Amerika.
  5. Yebaza Omutaka Mutesaasira olw’okubakwasa Katikkiro abakozeemu omulimu ng’abakulembeze mu kika.
  6. Yategeeza nga bwe bakwasibwa obuvunannyizibwa ne batuula ne bakola Namutayika W’ekika (WorkPlan)ya mwaka mulamba.
  7. Yategeeza ng’olukiiko lwa bakulembeze bwe lutuula emirundi ebiri buli mwezi, n’asaba abazzukulu bajumbire mu lw’abazzukulu olutuula buli Lwamukaaga Olusooka mu Mwezi babawe amaanyi.
  8. Yategeeza ng’embalirira bw’eri yamugatte gwa bukadde 161n’asaba abazzukulu bakwatire wamu.
  9. Yayanjula akatabo “MUZIRANGO” omuli embalirira yonna nga kano kasangibwa ku Tavern Woods e Lubaga oba ku Ofiisi ya Jjajja Mutesaasira ku Bulange ku Mutwalo Gumu (10,000/-).
  10. Yasaba buli Muzirango aweeyo Emitwalo Ebiri (20,000/-) buli mwaka mu nsawo y’ekika.
  11. Yayanja Emunnyenyeso y’ekika:
    “Ekika Ekikulakulana, Eky’eyagaza Banyinikyo N’okwegombesa Ebika Ebirala!”
  12. Yategeeza ab’aliwo nga; ebyenjigiriza, obulimi n’obulunzi bwe giri egimu ku miramwa emikulu mu kika.
  13. Yategeeza ng’ekika bwe ky’agala okukola ebintu ebinene nga bbanka gye bujja mu maaso.
  14. Yajukiza Abazirango ng’emipiira gy’ebika bwe gy’ali ginatera okutandika nga Engo yali yakusamba n’Akasimba nga 12-08-2017 n’abasaba babeeyo bawagire ekika.

 

Oluvannyuma abaana b’Omugenzi Yekosofati Kavuma Gambakubaana eyali Katikkiro w’ekika ky’engo ku Mulembe gwa Mutesaasira Omubuze Henry Namuyimba I basanyusa abagenyi n’amazina ag’ekinnansi.

 

 

 

 

  1. Katikkiro W’ekika Ky’engo – Omukungu Steven Kabugu Ddungu:
  2. Yayaniriza abagenyi ne baJjajja abamasiga.
  3. Yakulisaayo Omutaka Mutesaasira emitala wa Mayanja.
  4. Yebaza ab’amasiga Jjajja Mutesaasira gye yali yamala okukyala.
  5. Yebaza abakungu abakulembeze mu kika.
  6. Yakaatiriza entuula z’olukiiko lw’abazzukulu olutuula buli Lwamukaaga Olusooka mu Mwezin’asaba bazzukulu ba Mwanje e Nnono bajumbire enkiiko.
  7. Yakaatiriza embalirira ya 2017 n’okuwanirira ensawo n’Emitwalo Ebiri (20,000/-) buli mwaka buli Muzirango. Mu kyo n’asaba ekika kikoppe ekiri mu Kkanisa ya Yuganda ekya “KIDO” buli saabiti okufuna ssente.
  8. Yategeeza nti abakungu tebakoze lw’akuba tebalina nsimbi zikola mirimu. Yasaba buli Ssiga N’omutuba ogw’etuukira lireete Obukadde Obubiri (2,000,000/-) obwa basalirwa okuyamba okutambuza emirimu gy’ekika.

 

  1. Omukulu W’essiga Lya Mwanje E Nnono Mu Busujju – Omutaka Mwanje Francis Balimuttajjo III:
  2. Katikkiro w’essiga yeyayita Omutaka Mwanje ayogereko eri abagenyi be.
  3. Omutaka Mwanje yatandika nakwanjula kita kyamwenge eri Jjajja Mutesaasira.
  4. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira , ab’amasiga, n’abagenyi abalala bonna.
  5. Yayanjulira Jjajja ekiwandiiko nekimusomerwa Omuwandiisi w’ekika Omukungu John Baptist Ssegiriinya nga bwekirambikiddwa wammanga:

 

OKWOGERA KW’OWESSIGA MWANJE E NNONO –BUSUJJU.

Mwanje e Nnono ye mutaka w’essiga lya Mwanje e Nnono mu kika ky’engo era y’abeera mu Lubiri lwa Jjajja we Kintu. Oluvannyuma lw’okumulekamu Jjajja we Kabaka Kintu n’abula! Omutaka ono y’atuukirwako emirimu gyona egikolebwa mu Lubiri omwo.

Teri nsonga yonna ekolebwa mu Lubiri nga Mwanje tamanyi. Era Mwanje aliko kati nga wa Makumi Ana Mwomu (41) ye Mwanje Francis Balimuttajjo III. Yafuna obwa Mwanje oluvannyuma lwa kitaawe okufa, namubikako akabugo era taddayo kumulabako yadde omuzikako kubanga aba afuuse Mwanje – Omulangira Omukulu mu Lubiri lwa Kintu nti entebe ya Mwanje tesula nga Mwanje taliiko!

Oluvannyuma yakolwako emikolo egimunyweza ku ntebe y’obwa Mwanje nga ennaku z’omwezi 29/8/2014.
Ekyenjawulo ekiriwo Omutaka Mutesaasira y’akakasa Mwanje kubwa Mwanje, ate naye Mwanje n’akakasa Taata we Mutesaasira kubwa Mutesaasira ku Kasozi Munywa.

 

Bano be baJjajja ba Mwanje Francis Balimuttajjo III okuva ku Mwanje Kabaka Kintu gweyaleka mu Lubiri lwe:

  1. Mwanje Ssennono Kattoto
  2. Mwanje Magonga
  3. Mwanje Lubowa
  4. Mwanje Ddunda Kintu
  5. Mwanje Lubowa II
  6. Mwanje Ssenabulya
  7. Mwanje Mwerinde
  8. Mwanje Sserubambula
  9. Mwanje Kalongo
  10. Mwanje Musoke
  11. Mwanje Bigo
  12. Mwanje Balanga
  13. Mwanje Lubowa III
  14. Mwanje Ssemwezi
  15. Mwanje Kiryango
  16. Mwanje Ssemuju
  17. Mwanje Zitemwokumu
  18. Mwanje Semuju Maganda
  19. Mwanje Kukuli
  20. Mwanje Yalaba Muganyi
  21. Mwanje Kintu
  22. Mwanje Mukasa Nkwanga
  23. Mwanje Tabajwa
  24. Mwanje Konde Ssemwezi II
  25. Mwanje Lukandufu
  26. Mwanje Lubowa IV
  27. Mwanje Ssemuju
  28. Mwanje Kintu Kulembera
  29. Mwanje Kinandi Mukasa
  30. Mwanje Kinyama Katakula
  31. Mwanje Nkonde
  32. Mwanje Kugulu
  33. Mwanje Nkusikambukire
  34. Mwanje Ngabotekyala
  35. Mwanje Matumbwe
  36. Mwanje Balimuttajjo I
  37. Mwanje Ssebbaale Kyerogoza
  38. Mwanje Yosefu Zemengo Kaddu
  39. Mwanje Yosefu Balimuttajjo II
  40. Mwanje Kalooli Kavuma
  41. Mwanje Francis Balimuttajjo III

 

Bano ba Mwanje baziikibwa Nnono mu kifo kye bayita Munnassirye era baayitangawo kubataka Munnassirye.Ku Nnono tekwazikibwangako muntu yenna okujjako ba Mwanje.

 

Kale no Omutaka Mwanje yaberanga mu Lubiri ne Jjajjawe Kabaka Kintu ne Muwalawe Nakintu era Mwanje ye Ssaabalangira We Miziro Gya Baana Ba Kintu. Emiziro nga; Engo, Empologoma, Embwa, Akasimba nemirala.

 

 

 

Kale no Kintu bweyamala okuzza omusango gw’okufumita Kisolo effumu yaddukira mu nju ya muzzukulu we Mwanje era n’amukweka.Bwebwazibanga, Mwanje yafunanga ewalala n’akweka Jjajjawe. Mwanje yalagiranga abakyala be yesiga okufumba emmere nebagiteeka mu bibbo ne bagimuwa nagitwalira Jjajjaawe Kintu gyeyali amukwese. Bwewayitawo ekiseera nga Kabaka Kintu ayagala okw’eyongerayo, yayita abantu bonna ab’ali mu Lubiri n’abagamba ono gwe mbalekedde abakuume, nga bwankuumye namwe bw’aba abakuuma era akuume Olubiri lwange, mumuwulirizanga, ne mutuula ne Muteesa ku ky’aberanga abagambye.

 

Bweyamala ekiseera nga takomawo mu Lubiri Mwanje nayita Abataka, omwali n’abakulu be bika ne basaako ku Namulondo Omulangira Chwa Nabakka era Mwanje olw’okuba ye yali Ssaabalangira Jjajjawa Buganda yeyasumika eddiba ly’engo n’ekifundikwa ky’olubugo nga Kabaka.Era Mwanje namulagira (Chwa Nabakka) ng’afuuse Kabaka agende akube e Kibuga wonna wayagala.

 

Yamukwasa  Omutaka Namakaaga amuwerekereko, mu kifo kya Mwanje. Yakuba ekibuga ekyasooka ku lusozi Bantwala e Magonga awo Mwanje namulagira yeyongereyo bweyava ku Bantwala n’akuba e Kibuga e Bbimu mu Busiro awo we yasinziira nawa Namakaaga ekyalo Bugimba.Era Kabaka Chwa n’agamba Namakaaga nti okuva kati gwe Jjajjange sikyadda mabega.

 

Essiga lya Mwanje gw’asooka kuba Mutuba ogw’etuukira ku Kasolya.Naye ky’ava ku Kabaka omu okusiima Mwanje olw’okukola obulungi emirimu mu Lubiri awo Kabaka n’alagira Mutesaasira ow’akasolya mu kika kyengo eyaliko – Mwanje amufuuleow’essiga. Era kati Ssiga kkulu eriwedde emirimu nga kati lirina Emituba Kumi Nebiri (12) ne Nnyiriri Bbiri (2) ez’etuukira nga bye bino:

  1. Kyerunze – Namayovu
  2. Kawenda – Kyabayuma Nakaziba Ssingo
  3. Nyenya – Nakabago Mukono
  4. Kyukyu – Bugerere
  5. Kyesingo – Maya Busiro
  6. Byuma Kiteezi Namba 5 – Gombe Butambala
  7. Kweyaga Mukasa – Buleesa Busujju
  8. Nkonde – Bulemeezi
  9. Ngabompya – Kasubi Kampala
  10. Nkusamukire – Bulemeezi
  11. Kanaguluba – Kyamujobe Lukenene Ssingo
  12. Kawumunta – Kanyike Kibisi Mawokota
  13. Olunyiriri Lwa Malende nga guno gwali mutuba naye gw’afunamu obuzibuzibu netuguyimiriza gumale okw’etereeza.
  14. Olunyiriri lwa Ssebbaale Kyerogoza – Luno lweruvaamu ow’essiga Mwanje ne Ssaabalangira w’essiga era luno lw’etuukira butereevu ku Ssiga waggulu.

 

Ebyo by’ebitonotono ku byafaayo bya Mwanje.

 

 

Ate bino bye bika ebikulu ebyasigala ku Kabaka Kintu era eby’obuwangwa, era byebikuuma  e Nnono y’obuganda mu bufunze be bataka n’abazaana ab’emikolo mu Lubiri lwa Kabaka Kintu era basiigibwayo busiigibwa Bakabaka n’abataka baJjajjaabwe ab’obusolya oba ow’essiga nebabakwasa Omutaka Mwanje mu Lubiri era y’abakulira mu mirimu gy’abwe gyebakola mu Lubiri.

  1. Mwanje owe Magonga Nnono
  2. Bakazi Lwendo / Nnalinya
  3. Kisolo ow’engonge e Bweza
  4. Kakulukulu ow’oLugave e Busenya Malangala
  5. Ssebuccu ow’enkima – Malangala
  6. Kiwutta ow’embogo Naluguma
  7. Kalibbala ow’enseenene e Bbala Nsiisi
  8. Ssesanga ow’enjovu e Ntonyeze
  9. Ssekyondwa owe Ngabi Nandwagudde
  10. Mabingo owe Kkobe Buzimwa
  11. Kafuuma owe Nnyonyi e Bufuuma
  12. Kawungu owe Ffumbe e Buwungu
  13. Bagalazimba ow’obutiko
  14. Mubiru Bakka owe Mamba – Buwaya
  15. Katatta owe Kibe – Mabanga
  16. Kasonseka ow’omusu Kanyana
  17. Gguluddene ow’embwa e Kiggwa
  18. Miwundo Omulangira
  19. Nakabambagiza ow’engo – Nalugamba
  20. Lutaaya owe ŋŋonge – Bongole
  21. Bwoya ow’enkima – Mubango
  22. Kitakula ow’engo e Buvvi
  23. Namakaaga ow’engo e Bugimba
  24. Katangaaza ow’empindi e Kyaggwe
  25. Kagga ow’engabi.

Emirimu abo bonna gyebakola mu Lubiri, Mwanje agimanyi bulungi era teri n’omu gw’atamanyi mulimu gwe.Tetusobodde kugirambulula, tulina kyetwewaze.Era bano balina webakoma mu mirimu gyabwe era balina ne webatatuuka mu Lubiri. Emikolo egisigadde egyenkomeredde gikolebwa Mwanje ne Nnalinya era bebamanya ekisembayo mu Lubiri!

Bino by’osomye tebivudde mu mutwe gwa Mwanje Balimuttajjo III Francis wabula bivudde mu bitabo ebizze biwandiikibwa okuva emabega nga bijja bidiringana era nebikuumibwa baJjajja ba Mwanje ababaddewo era bino bivudde mu kitabo ekyasembayo ekyawandiikibwa mu 1849.

Nze;

____________________

MWANJE
OW’ESSIGA E NNONO
0772876483/0752876483

  1. Oluvannyuma Mwanje yayanjula ab’emituba ne Ssaabalangira w’essiga eri Mutesaasira:
  2. Ssaabalangira w’essiga – Ssaalongo Lwanga Balimuttajjo
  3. Mwanje John – Myenya e Nakabago Mukono Kyaggwe
  • Wampamba Ssennono Lubowa – Ccucu e Kyampisi Bugerere
  1. Ssebuwufu Fred Kavuma Gambakubaana – Kyerunze e Namayumba
  2. Kintu Fulgensio – Kawumunta Kintu e Kanyike Mawokota
  3. Ssenabulya Godfrey – Kweyaza Mukasa e Bulesa Busujju
  • John Lubowa – Mabombya
  1. Oluvannyuma Mwanje yayanjula Abataka eri Mutesaasira:
  2. Omutaka Kiwutta e Naluguma (Mbogo) – Asiigibwayo Kasibante
  3. Kalibbala Ow’enseenene e Nsiisi
  • Kisolo ow’eŋŋonge e Bweza
  1. Lutaaya owe ŋŋonge – Bongole
  2. Bwoya ow’enkima – Mubango
  3. Kyebuzibwa – Akuuma Kabaka w’alengerera ewa Kintu.

Mwanje yategeeza Omutaka Mutesaasira nga Olubiri bwe lutudde ku Yiika 39 agatasibwako Liizi.

 

 

 

 

  1. Ebisoomoza mu Lubiri Lwa Kabaka Kintu e Nnono:

Mwanje yayanjulira Mutesaasira ebimu ku bisoomoza mu Lubiri:

  1. Ebibira biweddemu, abantu b’eyambisa ekibira ky’omu Lubiri okutyaba enku n’emirimu emirala nga bano okusinga baluganda abatagaanika.
  2. Abantu ab’enonyeza ebyabwe basumbuwa Olubiri. Waliwo abajja nga bagamba nti Kabaka Kintu yabatumye eri Mwanje – Muzukulu we ng’ate ye tasobodde kumwegambira. Wano weyategeereza nti Olubiri lukumibwa ab’obusaale babiri.
  • Yaloopa abanaabira mu Lubiri okw’eyambulula.
  1. Yategeeza nti mu Lubiri mulimu abantu batono olw’ensonga ezo waggulu era nga Mwanje ne Nnalinya bokka be bali ku kakiiko k’olubiri ak’okuntikko.
  2. Yalaalika nti mu Lubiri tebasuza! Oyo yena ab’alina ekimuleeta mu Lubiri agendanga misana kuba Olubiri lulina essaawa z’abagenyi.
  3. Ebirungi mu LubiriLwa Kabaka Kintu e Nnono:

Omutaka Mwanje Balimuttajjo III yategeeza Taata we Mutesaasira nti yatandika okubeera mu Lubiri mu 1999 era nga bino bye bimu kubirungi ebituukidwako:

  1. Basobodde okuzaamu ennyumba z’omu Lubiri.
  2. B’afuna ebyuma ebisaawa nga kati bagula mafuta omulimu negukolebwa.
  • Basobodde okufuna emikwano egijja okuyambako.
  1. Bagenda kuteekako akatimba ne geeti ku Lubiri.

Omutaka Mwanje yawabula ku ky’amabaati ku Nnyumba z’omu Lubiri: Amabaati g’ateekebwako lw’akuba essubi terikyalabika, eriba lirabiseewo lyakulongoosa. Bw’atyo yasaba Jjajjawe Kabaka Kintu munda n’asaamu akasubi k’emikolo n’alyoka asaako amabaati kungulu.Emiriro egikumibwa ab’emitima emikyamu nagyo gyamuwaliriza okudda ku mabaati okusobola okugitangira.

  1. Okusiima kw’essiga Lya Mwanje e Nnono Magonga Busujju:

Omutaka Mwanje wamu n’olukiiko olukulembera essiga b’asiima abantu ab’enjawulo abayambye ku ssiga lino mu kusoomozebwa kweriyiseemu nga be bano wammanga:

  1. Omutaka Omugenzi Henry Namuyimba I Mutesaasira; Olw’okulwanirira ennyo essiga lya Mwanje era n’asala amazima ku nsonga ez’aliwo.
  2. Omukungu Kavuma Teruggwamaddu (Okuva mu Ssiga lya Nakyejwe e Mabanda);okujjanga mu nkiiko ezatuulanga n’akangula ku ddoboozi ku basajja ab’ali b’esomye okusaanyawo essiga lyaffe.

 

  • Omukungu Kalyango Balireete;Omuwandiisi w’ekyama ku mulembe gwa Mutesaasira Namuyimba I. Yakola bulungi n’akangula ku ddoboozi n’alwanirira essiga lya Mwanje e Nnono.
  1. Omutaka Kalyango e Buvvi (Samuel Kintu); Olw’okukubiriza obulungi olukiiko lw’abamasiga.
  2. Omugenzi Yekosofati Kavuma Kabubbu; Olw’obukulembeze obulungi obwa Katikkiro mu kika ky’engo. Tw’asiima nnyo munaffe gy’oli Omukama akukwatirwe ekisa owummule bulungi.

 

 

  1. Kasibante Kiwutta e Nalugamba. Omulimu ogwakuweebwa mu Lubiri lwa Kabaka Kintu e Nnono – Ogukoze bulungi, tusiimye tusiimidde ddala.
    Omutaka Mutesaasira yasuubiza okutegeeza Omutaka Kayiira omulimu omulungi Kiwutta gw’akola mu Lubiri.
  • Bwoya e Mabango. Omulimu omunene gw’akoze mu Lubiri lwa Kabaka Kintu e Nnono. Ono akoze ku mirembe gya ba Kabaka Basatu; Chwa II, Muteesa II ne Mutebi II.
  • Nnalinya Wolubiri – Sarah Kagereolw’enkolagana ennungi.
  1. Omutaka Henry Keeya Tendo Namuyimba II – Olw’okutambuza obulungi ekika mu banga etono lyeyakamala.

 

Jjajja Mutesaasira yebaza ab’essiga lya Mwanje olw’okubawo ebirabo ebiwangaazi.

 

Omutaka Mwanje yategeeza nga bwafunye obumanyirivu era ng’ekiviirako embiri okw’onooneka lye bbula ly’enkolagana wakati w’abo abali mu Lubiri.Wano Mwanje n’ayita Kalyango e Buvvi okw’ogerako eri Abazirango.

  • Omukulu W’essiga Lya Kalyango E Buvvi Mu Busiro – Omw. Kintu Sam – Akulira Ab’amasiga Mu Kika Ky’engo:

 

  1. Yayaniriza Omutaka Mutesaasira, Mwanje, abamasiga, Katikkiro n’abamyuka be, abakungu mu kika, Taata wa Mutesaasira, abataka b’emikolo, Ssaabalangira wa Mwanje, abalangira n’abambejja n’abagenyi bona.
  2. Yategeeza nga Kabaka Kintu bwe yamusimbira Omutuba ku mazzi e Buvvi weyatuukira n’amusigamu ebintu eby’enjawulo abalala byebatanamanya.
  • Yategeeza olukuŋŋaana nga n’ewa Kalyango bw’eriyo ab’ebika ebirala.
  1. Yayongerako nti e Nnono Kabaka Kintu weyafundikirira bye yali yatandika ng’anonooza kino nakiri.
  2. Yategeeza bazzukulu ba Mwanje ng’abengo bwe bali Abalangira n’Abambejja. Era n’ayongerako nti teri Mulangira atali Wango!
  3. Erinnya Kalyango liva mu Ngo Kabaka Kintu gye yasalawo okw’eddira nga yakajja.
  • Yebaza Omutaka Mwanje okukulembera obulungi n’amusabira ba Jjajjabe abasooka bamwongere amaanyi.
  • Yakubiriza ab’aliwo banyikire okwagala eby’obuwangwa bwabwe kuba bye birimu ekyama.
  1. Y’ewunnya Kabaka Muteesa I eyaleeta eddiini n’akisa Omukono ng’eyiye temanyiddwa. Bw’atyo n’aggumiza nti eby’obuwangwa byebyasooka.
  2. Kalyango yasomesa nti y’asimbira Gabunga Omutuba, Kabaka Buganda era y’avamu ekika ky’Akasimba.
  3. Yategeeza nti e Nnono ky’ekifundikwa n’asaba tuleme kw’erabira gyetwava okusobola okutegeera gyetugenda.
  • Yebaza abaana ne bannyina ba Yekosofati Kavuma olw’okubeerawo. Yaloopa abaana olw’okwebalama enkiiko.
  • Yebaza Katikkiro eyawummula Teruggwamaddu Kavuma eyajja n’abaana n’abakubiriza (abaana) okujumbira ekika kuba kitaabwe amaanyi gagenda gakeewa.
  • Yayanjula abamasiga n’emituba egy’etuukira (abataka) ab’aliwo:
  • Namuyimba e Kibuye Kyaddondo – Francis Lubowa
  • Kiseyeeye e Kawanga – Ssalongo Kavuma
  • Nakabambagiza e Nalugamba mu Busujju – Ernest Mwanje
  • Kiwedde e Mpongo
  • Banda Balogo Ssemisambwa Basajjabatambule e Nakigalala mu Busiro – Ssinabulya Ssebanja.
  • Omumyuka wa Katikkiro wa Kavuma e Dajje mu Busujju – Omuwandiisi w’olukiiko lwa bamasiga – Batume Mwanje Edward
  • Ssegiriinya e Lubanja mu Ssingo.
  • Ow’omutuba gwa Kayimba e Bongole Mawokota mu Ssiga lya Nakyejwe e Mabanda.
  • Ow’omutuba gwa Kakumba mu Ssiga lya Nakabambagiza e Nalugamba
  • Omukiise wa Nkulo e Bwende – Ssemuju Mwanje
  1. Yakulisaayo Omutaka emitala wa Mayanja.
  • Yayanjula Ngabompya – Omubonzi Wamaato (Emirundi Musanvu nga b’etaba mu mpaka z’amato ku lw’ekika). Bw’atyo n’asaba Katikkiro omuzannyo gw’amato guddemu okutukizibwa mu kika.
  • Yawabula omukubi w’omubala nti gubeera mu maaso g’abantu – ng’ono yali agukubira mu bukiika bw’abantu!
  • Yategeeza ab’aliwo nti yakuuma “Akalyango” – Kabaka Kintu mwe yayita ng’ajja okulya Obwakabaka.
  • Wano yayita Mutesaasira ayogereko eri Abazirango.

 

 

 

 

 

 

  • OMUTAKA MUTESAASIRA – Keeya Tendo Namuyimba:

 

  1. Omutaka Mutesaasira yatandika n’okusaba akayimba k’eŋŋoma eŋŋanda n’asaba abazirango bona abagala okubiibya begazanyize ku mukolo.
  2. Yatandika okw’ogera kwe n’okwolesa ennaku olw’abataali ku mukolo oluvannyuma lw’okuyitibwa Jjajjabwe Mwanje.
  • Yanyumiza ab’aliwo nti mu Amerika gye yali yakava, abaddugavu bayo b’egomba ffe ab’omu Afirika kubanga ffe tulina ennono n’obuwangwa. Bw’atyo n’asaba bazzukulu be baleme kubuzannyiramu era babutwale nga kintu kikulu awamu n’obukuuma.
  1. Yayanja ebintu musanvu (7) ebifuga ensi:
  • Ettaka; N’asaba bakuume ettaka kuba kwekukolerwa ebirala.
  • Abantu; Okukuuma ebiwandiiko olw’abantu abakungibwa neyebaza n’abajja ku mukolo.
  • Eddiini
  • Tekinologiya
  • Ebyobulimi
  • Ebyokusoma n’Ebyobulamu
  • Ebyokwewummuza Nokwewummuza

 

  1. Yasomesa nti ekika ye buli Muzirango. Bw’atyo n’akubiriza abazirango okuzaala.
  2. Yabakubiriza bayigirize abaana empisan’olulimi lw’abwe. Luno lwamukaaga mu nnimi ezisinga okw’ogerwa mu Afirika. Tuyige okulwogera, okulusoma, n’okuluwandiika.
  • Yakubiriza Abazirango benyigire mu bukulembeze.
  • Yakubiriza Abazirango balabirire abaana n’okubatwala ku ssomero.
  1. Yasaba akwate abajja mu ngalo nga bwe bawaayo ku lw’essiga lya Mwanje eryalina okuwaayo Obukadde Bubiri ku mbalirira y’omwaka 2017. Bano b’asonda Emitwalo Ana mu Gumu (410,000/-).
  2. Yebaza Taata George William Keeya olw’okumutwala ku ssomero.

 

  1. Yasabira abalwadde basuuke, yakubiriza abazirango okwagala baliranwa obutawuula mu ddiini oba byabufuzi. Na buli omu kyeyasaba ku Lusozi akifune. Yayongera okusabira abakyala bawasibwe n’abalenzi bafumbirwe emmere.
  • Omutaka Mutesaasira yasaba buli Muzirango asimbe omuti mu sabiiti ya 22 Okutuuka Nga 28 Omwezi Gwomunana (8) 2017olw’okumujagulizaako amazaalibwa ag’aliwo nga 22–08–1982 n’olunaku Lwe Yatuuzibwa Ku Bwa Mutesaasira nga 26–08–2017.
  • Omutaka yafundikira yebaza buli yajja ku mukolo.

 

 

  • Okufundikira:

Aba Yekosofati Kavuma b’ayita abazirango mu kusabira emyoyo gyabagenzi nga 12-08-2017 e Kabubbu ne beyama Emitwalo Asatu (300,000/-) ku Lwa Jjajjabwe Mwanje e Nnono.

Omutaka Mwanje yayanjula ebirabo ab’emituba n’abazzukulu bye batonera Mutesaasira.

Omukolo gw’afundikirwa n’ekyemisana nga Omutaka Mwanje agabula abagenyi be.

BIWANDIIKIDWA

MWANJE BRIAN
OMUGIRIINYA