ENKIIKO EZ’OBUKULEMBEZE

ENKIIKO EZ’OBUKULEMBEZE MU KIKA KY’ENGO

OLUKIIKO.

Nga ogyeko enkiiko ebbiri olw’Akasolya n’olw’Abazzukulu Sseggiriinya mw’atuula mu
kika ky’Engo, era Sseggiriinya alina enkiiko endala bbiri ezize ku lulwe nga era ye Ssentebe
w’azo. Olw’Abennyiriri n’olw’Abagirinya nga zino zombi zirina abawandiisi n’abawanika
omuli n’abakiise ab’enjawulo abalala. Era Sseggiriinya atera okusaawo obukiiko obw’enjawulo
okugonjoola ensonga oba okunoonyereza ku nsonga ezitali zimu.