BUTEESAASIRA 2018

OKULAMAGA KWE KIKA KY’ENGO KU BUTAKA E BUTESAASIRA NGA 08-12-2018

:Ku Lwokutaano N’olwomukaaga nga 07 ne 08-12-2018. Abazirango baakuŋŋaanira ku butaka e Butesaasira Bukesa Butambala. Kano kati kaafuuka kalombolombo nga buli Ntenvu Abazirango balamaga ku butaka bwaabwe ku Lusozi Munnywa okumanyagana.
Enteekateeka Y’olunaku:
    12:00 – Dduyiro
    1:00 – Ekyenkya
    2:00 – Abazzukulu N’Abagenyi Batuula Mu Kidaala
    3:00 – Abagenyi Ab’enjawulo Batuuka
    3:30 – Emmisa Etandika
    5:00 – Emikolo Gitandika
    5:10 – Okusanyusa Abagenyi
    5:30 – Omugenyi Ow’Enjawulo Atuuka
    5:30 – Okwogera kwa Kalabalaba W’omukolo
    5:45 – Okwogera Kwa Ssentebe wa “ABAZIRANGO TWEZIMBE”
    6:00 – Okwogera kw’Omukubiriza w’Abamasiga
    6:45 – Okwogera kwa Katikkiro W’Ekika Ky’Engo
    7:00 – Okusanyusa Abagenyi
    7:15 – Okwogera kw’Omugenyi ow’Enkizo
    7:45 – Okwogera kw’Omutaka Mutesaasira
    8:00 – Ebigagu Bya Jjajja (Ekyemisana)
Kalabalaba W’omukolo yali Sipiika Mwanje Ishaak Musomesa.
Emmisa:
Omwaka guno okusinza kwa kulemberwamu eddiini y’Abakatoliki. Bano baakulemebrwamu Faaza Kiwanuka Kalyango, Faaza John Baptist Kintu ne Faaza Ssemuju.
Faaza Kalyango yabuulira ku lufumo lwa Kintu ne Nambi olukakasa nti Abazirango bakoddomi ba Katonda. Yabakubiriza okukola ebintu mu budde. Baggyengayo amazima g’engo nga tebalya nguzi ng’Engo bwe talya Bitaguju!

Oluvannyuma lwa Mmisa, Sipiika yayaniriza abantu bano ku mukolo; Omutaka Nsamba, Omutaka Namwama, Katambala, Ababaka ba Mutesaasira mu bitundu eby’enjawulo, Bassentebe be byalo abaali ku mukolo, Bakatikkiro bamasiga awamu ne kansala Ssebuufu Zayidi.
Oluvannyuma yayita Katambala ayayanirize abagenyi mu Ssaza lye Butambala.

Katambala – Twaha Lwanyaga:
Yayaniriza Jjajja Mutesaasira mu Butambala
Yebaza Mukama olw’obukuumi bwa Jjajja Mutesaasira  eyali yakawona akabenje ke Mmeeri eyabbira mu Nnyanja Nnalubaale mu kiseera ekyali kyakayita. Yategeeza nga bwe gutaali musango okubeera mu ssanyu kubanga ne Kabaka yassaawo minisitule y’okwewummuza mu Buganda.
Yategeeza nga bw’alina Akasolya k’Ekika kamu kokka Ak’Engo mu Ssaza lye Butambala.
Yasaba Abazirango bakwatireko Jjajja Mutesaasira azimbe ekika eky’omuzinzi.
Obuganda buli bumu n’eddiini.
Yasaba abaaliwo okuwanga amaddiini agatali gaabwe ekitiibwa bwe babanga ku mikolo.
Yakubiriza bonna okuwaayo mu kuzimba ekika kyabwe.
Yasuubiza okuddiza Ekika ky’Engo ettaka bwe kiriba kituuse okukolerawo.
Yayanjula Sam Mwanje Kiggwe Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lye Atlanta Georgia (Uganda North American Association).
Yasaba asiibule mangu kuba yalina emikolo mingi mu kiseera ekyo.

OMUBALA gw’ekika gw’akubwa; Oluyimba lwe Ensi Uganda, Ekitiibwa kya Buganda awamu n’oluyimba lw’ekika byayimbibwa.

Sipiika yayita aba Bazirango Twezimbe boogereko eri abantu.

Okwogera kwa Ssentebe wa BAZIRANGO TWEZIMBE – Mw. Kavuma James:

 

 

Ono ava mu Ssiga lya Katabula e Buzirango mu Buddu. Ye nnyini ssomero erya Ndejje High School e Ndejje mu Kyaddondo nga ly’erimu ku makampuni agaalanga mu kitabo ky’ekika ekya MUZIRANGO 2018 ekyatongozebwa ku lunaku olwo.
Yebaza Jjajja olw’okubasaamu obw’esige nga ekibiina kya Bazirango Twezimbe.
Yebaza Katikkiro wamu n’olukiiko lwe olw’okutambuza emirimu gy’ekika.
Yayaniriza Bajjajja Abamasiga awamu n’Emituba egy’etuukira.
Yayanjula bannakibiina abaaliwo ku mukolo; Kavuma Umar, Dr. Namwanje Harriet, Ssekidde Moses, Kintu John, Eriab Kadduukirizi, Ssinabulya Evans, Ssekidde Simon Peter ne Mugagga Dennis; naye nga bali Abiri (20) omugatte.
Yategeeza nga bo bwe baagala ekika kyabwe naasomooza abalala okwebuuza ki kyebateeka mu kika ng’ettafaali.
Yalanga enkiiko za Katikkiro buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi.
Yategeeza ng’Abazirango bwe balina okubeera ku ntikko.
Yasaba Abazirango okuwaayo obudde okumanya ebikwata ku kika, bakole n’amaanyi.
Yabategeeza nga bwe kyali kikakata ku buli Muzirango okw’etaba mu bikolebwa ekika. Bajumbire baweeyo obudde ne ssente buli omu mu busobozi bwe ku buli mutendera gw’ekika.
Yasaba Katikkiro ayanje ekika bye kyali kikoze mu mwaka ogwayita.
Yebaza abakulu abali mu kibiina olw’okuwaayo ennyo eri ekika kyabwe.
Oluvannyuma Sipiika yayita Omutaka we Buvvi – Kalyango Kintu Sam; Omukubiriza W’olukiiko lwa Bamasiga N’emituba Egyetuukira.
Omutaka Kalyango e Buvvi Kintu Sam – Omukubiriza W’abamasiga N’emituba Egyetuukira:
Yayaniriza Jjajja Mutesaasira, Katikkiro w’ekika kye Ffumbe, Bafaaza abakulembera okusaba ne bazzukulu baabwe bonna abaali ku mukolo.
Yategeeza nga Abazirango bwe bali Abalangira bajjajja.
Yayozayoza Abazirango okutuuka ku lunaku olwo.
Yasomesa nga bw’akuuma AKALYANGO akatono e Buvvi mu Busiro Kabaka Kintu mwe yayita ng’ajja okulya Obuganda era nga yakurira essiga ly’okumazzi.
Yayanjula bataka banne abaaliwo ku mukolo: Namuyimba e Kibuye Kyaddondo, Nakabambagiza e NNalugamba Busujju, Mwanje e Nnono Busujju, Ssegiriinya e Lubanja mu Ssingo, Kiwedde e Mpongo mu Gomba, Kavuma e Butwala mu Kyaggwe, Nakatanza e Nakukuba mu Kyaddondo, Sserukulubambaaza e Ntolomwe mu Butambala, Omukiise wa Bbugo e Mangira mu Kyaggwe, Katikkiro wa Kavuma e Ddajje mu Busujju, Omukiise wa Banda e Nakigalala mu Busiro awamu n’omukiise wa Kabandagala e Kiyovu mu Kooki.
Yebaza abateesiteesi (olukiiko lwa Katikkiro). Yebaza Omuzzukulu Namwanje Prossy (SURE DEAL) olw’okuwagira ekika mu kulanga omukolo ogwo.
Yagabana n’abaaliwo okuva mu musomo gwa Kabaka Foundation ogwali gubadde mu Lubiri e Mengo mu kiseera ekyali kyakayita nga gukwata ku Buwangwa Nennono za Buganda. Yabasaba bawaŋŋane ekitiibwa, baleme okubeera migeto gya byannyanja kubanga kye baaliko kyali kyabwe ddala.
Sipiika yayita Abasanyusa okuwummuzaamu ku bantu oluvannyuma n’ayita Katikkiro W’ekika ayogere eri abantu:
OKW’OGERA KW’OMUKUNGU KABUGU STEPHEN DDUNGU – KATIKKIRO W’EKIKA KY’ENGO :

Ono yayaniriza Jjajja Mutesaasira awamu ne Jjajja Mukyala, Bafaaza, Abakulu b’obusolya abalala abaali ku mukolo, Bajjajja Bamasiga, Omukiise wa Ssaabasajja mu Atlanta Georgia mu Amerika, Abakungu mu kika, Ababaka Ba Mutesaasira mu Masaza ag’enjawulo n’Abazirango bonna. Yayaniriza abagenyi b’ekika bonna kw’olwo.
Yategeeza nga bwe baali e Butesaasira omwaka ogwayita era nga bingi ebyali bibaddewo omwaka mulamba okuva lwe basembayo okubeera e Butesaasira Bukesa Butambala.
Yebaza Mukama okuwonya Jjajja Mutesaasira awamu ne Jjajja Kiwedde akabenje ke Meeri akagwa ku nnyanja Nalubaale akabanga katono akaali kayise.
Yategeeza nga bwe yali abaddde Katikkiro w’ekika okumala emyaka esatu awamu n’olukiiko lwe. Era ng’omu ku bakungu yali afuuse Omutaka we Mpongo mu Gomba (Kiwedde).
Yayolesa essanyu olw’okuba ng’Abazirango bakuŋŋaana okumanyagana awamu n’okulamaga. Yategeeza nga ekika bwe kirina okugenda mu maaso.
Yayaniriza Omw. Ssekkono awamu ne Gladys Kavuma muwala wa Paulo Kavuma eyali Katikkiro wa Buganda.
Ebikoleddwa
1.    Yategeeza ng’Ekika bwe kyali kyafuna ekibanja kya Yiika Ssatu ku Lusozi Munnywa era nga mwalimu Kalitunsi mu kiseera ekyo naasuubiza nti baali bakugaziya ekibanja ekyo. Yasaba abaali beyamye mu mwaka ogwayita okutuukiriza obweyamu bwabwe okusobozesa ekika okukola ku biruubirirwa byakyo.
2.    Yategeeza Abazirango ng’Olukiiko lwa Bazzukulu ba Mutesaasira bwe lutuula buli Lwamukaaga olusooka mu mwezi. Mu kyo yebaza omwami n’omukyala Ssinabulya bannannyini Tavern Woods Gardens e Lubaga – Kabuusu ekifo awatuuzibwa enkiiko z’ekika. Yakubiriza abaali bakiika bongeremu amaanyi kubanga Katikkiro tasobola kutambuza kika yekka. Yategeeza ng’olukiiko lwa Gatonya bwe lubeera ol’Omutaka Mutesaasira mwaggulirawo omwaka gw’Ekika n’abakubiriza okuzijumbira zonna.
3.    Yebaza abagenda ku mukolo gwa Jubireewo mu Lubiri e Mengo Kyaddondo ekika gwe kyetabamu.
4.    Yebaza abawaayo ku kibumbe ky’Ekika ekyateekebwa ku luguudo Kabakanjagala abaasonda Obukadde Kumi Nabusatu nga baakubirizibwa Jjajja Mutesaasira.
5.    Olusirika lwa bakungu n’abataka lwakwatibwa ku J-Frigh Hotel e Makerere Kikoni Kampala nga 21 ne 22 /09/2018. Baasalawo okusooka okukuŋŋaanya Abazirango okusobola okukola ebitambula.
6.    Yategeeza ng’Ekika bwe kyali eky’okukola enteekateeka ya myaka etaano egabanyizibwe mu buli mwaka mubeemu ebikolebwako.
7.    Yaggyayo eky’okuyiga nti Ekika bwe kiranga ennyo nga bwe kyakola ku mulundi ogwo, kijja kufuna Abazirango bangi abajja okw’enyigira mu mirimu awamu n’ebyo byonna ebikolebwa ekika. Mu kyo, yayongera okwebaza Namwanje Prossy (Sure Deal) olw’okuvujirira omulimu gw’okulanga omukolo gwe Butesaasira 2018. Yasuubiza nga bwe baali abokweyongera okulanga mu mwaka 2019 okutuusa nga bawezezza omuwendo gwa Bazirango abawandiike ogwegasa.
8.    Yebaza abawaayo ssente kw’olwo. Naasaba amagezi gasalibwe okufuna ssente mu kika.
9.    Yasaba Abazirango beekolemu omulimu bafune ekakkalabizo (soma – ofiisi) Omutaka Mutesaasira awamu ne Katikkiro we basobola okutuula. Yategeeza nga bwe baali batandise okugonjoola ensonga z’ettaka lye Kajaga basobole okutandika ku mulimu gw’okuzimba ekakkalabizo ly’ekika.
10.    Yayanjula Abakungu b’Ekika baakola nabo emirimu nga abaaliwo be:
    Omumyuka wa Katikkiro – Ssekidde Moses
    Ebyobulimi – Kintu John (Agrovet)
    Omuwandiisi – Ssegiriinya John Baptist
    Entambula – Lubowa Ramadhan
    Ssaabakunzi – Lubowa Mathias
    Owamawulire – Kadduukirizi Eriab
    Ebyobulamu – Namwanje Harriet
    Ebyobulambuzi – Keeya Kavuma
    Sipiika – Mwanje Ishaak Musomesa
    Ebyobuwangwa Nennono – Kiriibwa Kavuma Mukasa
    Ebyettaka – Ssekidde Vicent
    Ebyenjigiriza – Ssinabulya Evans
    Abavubuka Nemizannyo – Mwanje Saad
    Gavumenti ezebitundu – Ssaalongo Mwanje Sam
    Nnaabakyala – Hajjati Zam Namazzi
    Ebyenkulakulana – Kavuma Muzimba
    Protocol – Kalyango Balireete
11.    Yategeeza nga bwe kyali kyetagiisa Obukadde Abiri (20,000,000/-) okutandika ku mulimu gwa ofiisi bw’atyo naayita Abazirango okuduukirira omulimu gw’okuzimba ofiisi. Abazirango abenjawulo bawaayo mu mpeke n’obweyamu ensimbi Obukadde Kumi Na Munaana (18,000,000/-).

12.     Omuzirango Namwanje Prossy (Sure Deal) yawa obubaka bwe; yasaba Abazirango okwewagiranga awamu n’okwekwatanga ku mikono. Yasuubiza okugenda mu maaso ng’akunga Abazirango yonna gye bali okwettanira ebikolebwa mu kika. Yategeeza nga bwe balina okutendeka okwe myezi omukaaga okuva mu gw’okubiri omwaka 2019. Yeyama okuyambako Abazirango ekikumi abanasooka okwewandiisa (Half Bursary). Yasaba Abazirango abalina amasomero okukubiriza abazadde okugulanga Sure Deal Herbal Jelly.
13.    Omutaka Mutesaasira yatongoza Oluyimba olusuusuuta Ekika Ky’Engo okuyimbibwa ku mikolo gya Bazirango nga lwayimbibwa Wasajja Herman Mugejjera. Ono Jjajja Mutesaasira yamuwa bursary mu RidgeWay Grammar Schools ag’omukungu webyenjigiriza mu kika ky’engo – Ssinabulya Evans.
Omutaka Mutesaasira (ku ddyo) ng’abuuza ku Muzirango Wasajja Herman Mugejjera (wakati) – eyayimba Oluyimba olusuusuta ekika ky’engo ne Mukadde we afukamidde ku kkono.
OKW’OGERA KW’OMUTAKA MUTESAASIRA – Keeya Tendo Namuyimba II:

Okwebaza: Yebaza Katonda okubasomosa akabenje k’okumazzi awamu ne Jjajja Kiwedde – Kadduukirizi Eriab. Yebaza Katonda okubawa omukisa ogw’okubiri okubeera abalamu – Mukasa nabawanda. Yagenda mu maaso n’asabira bannaabwe Katonda beyayita mu njega eyo naasaba bayimirire naabaafiirwa abaabwe.
Yebaza Maama eyali ku mukolo guno olw’okumuzaala awamu n’okumukuza nga kati ye Mutesaasira. Yebaza ne Jjajja Mukyala olw’okuyimirira awamu naye mu kiseera kino nga yali aky’ayita mu kikangabwa ekya kabenje k’okumazzi keyasimattuka.
Yategeeza nga naye bwali omuntu alina obulamu era eyali asobola okubeera ku lyato. Baali bagenda kuggulawo biiki ya jjajja w’omulangira Wasajja eryato ne lifuna akabenja naye entuuko ye yali tennaba kutuuka ye nsonga lwaki yasimattuka.
Yategeeza nga bwe baafuna eky’okuyiga era neyebaza abantu abenjawulo ababaagala ne babaweereza obubaka obubasaasira awamu n’okubagumya.
Omutaka yebaza Omumbejja Namwanje Prossy olw’okulanga omukol0 gw’ekika ku mikutu egy’enjawulo. Yayongerako nti ng’ekika kiyita mu Bazirango Twezimbe, kyali kyakutuuka wala mu nkulakulana.

Abagenyi I: Omutaka yayanjula Abataka Namwama awamu ne Nsamba abaali ku mukolo guno era naye yeyama okubberanga obumu nabo. Yayanjula ne Katikkiro w’ekika ky’Effumbe – Eng. William Ssebaggala awamu ne Al-Hajji Lubega Kaddunabbi – akulira Insurance Regulatory Authority (IRA).
Omutaka Mutesaasira yebaza bajjajja abamasiga n’emituba olw’okukunga bazzukulu baabwe okw’ettanira omukolo n’emirimu gy’ekika okutwaliza awamu.
Obukulembeze: Omutaka Mutesaasira yebaza Katikkiro Kabugu Stephen Ddungu n’olukiiko lwe olw’okutambuza ekika emyaka esatu (3). Yategeeza nti ono akoze bulungi era naamwongera ekisanja mu butongole. Wano weyalangirira n’enkyukakyuka endala ezaali zikoleddwa mu lukiiko lw’abakulembeze nga ze zino wammanga:
1.    Mwanje Brian ye Muwandiisi w’ekika omuggya ng’azze mu kifo kya Ssegiriinya John Baptist ayafuulibwa Ow’ebyobulambuzi. Keeya Kavuma eyali mu Byobulambuzi yafuulibwa Mubaka wa Mutesaasira mu Ssaza lye Bulemeezi. Bonsatule baakwasibwa amabaluwa agakakasa obuvunaanyizibwa bwabwe obuggya.

2.    Ababaka ba Jjajja Mutesaasira mu masaza ag’enjawulo nabo baalangirirwa era abaaliwo nebakwasibwa Ebbaluwa ezikakasa obuvunaanyizibwa obwabaweebwa. Bano bagwa mu minisitule ekyali envannyuma mu kika eya Gavumenti Z’ebitundu ng’ekulemberwa Omukungu Ssaalongo Mwanje Samuel – okuva mu Ssiga lya Bbugo e Mangira Kyaggwe era be bano wammanga:
    Bulemeezi – Keeya Kavuma
    Mawogola – Sseruwu Samwiri
    Kyaggwe – Ssaalongo Lubowa Mathias
    Kyaggwe Mumyuka – Sseruwu Mathias
    Buddu – Mugagga Andrew
    Busujju – Rev. Faaza Achileo Kalyango
    Mawokota – Ssinabulya Alozius Mutesaasira
    Ssese – Mwanje Daniel
    Ssese Mumyuka 1 – Kalyango Gerald
    Ssese Mumyuka 2 – Luyiga Zalyembikke
    Butambala – Ssinabulya Muwanga
    Busiro – Lubowa Kalimiro
    Bugerere – Christopher Jjuuko
    Kabula – Hajji Mwanje Badru
    Kooki – Ssengo Kintu Francis
    Kyaddondo – Mwanje Ishaak
    Kyaddondo Mumyuka – Hajji Kavuma Umar
3.    Abamyuka ba Katikkiro kati bali basatu: Asooka – Ssekidde Moses, Owookubiri – Bomboka Kakumba Lawrence, Owookusatu – Mwanje Felix Ssemuju.
4.    Omumbejja Nabuufu Harriet kati ye Muwanika w’ekika ng’adda mu kifo kya Mwanje Felix Ssemuju.
5.    Eng. Kavuma Kato yavuunanyizibwa ku bya Mawulire ng’adda mu kifo kya Kadduukirizi Eriab Nanjibwa eyafuuka Omutaka we Mpongo mu Gomba Ow’omutuba gwa Kiwedde.
6.    Bano bo baasigala mu bifo bye baalimu:

    Kalyango Balireete – Pulotoko
    Kavuma Muzimba – Ebyenkulakulana
    Kintu John – Byabulimi
    Kiriibwa Mukasa – Ebyennono Nobuwangwa
    Lubowa Daniel Balyokwabwe – Ssaabawolereza
    Lubowa Mathias – Mukunzi
    Lubowa Ramadhan – Byantambula
    Mwanje Ishaak – Sipiika
    Mwanje Saad – Abavubuka Emizannyo Nokwewummuza
    Namazzi Zam – Nnaabakyala
    Namwanje Harriet – Ebyobulamu
    Ssekidde Vicent – Ebyettaka
    Ssinabulya Evans – Ebyenjigiriza

Ebirabo: Ab’essiga lya Bbugo e Mangira mu Kyaggwe baakwasa Jjajja Mutesaasira ng’ekirabo kye eky’okubakyalira ku Ssiga lyabwe ku Lubiri lwa Kabaka Kintu gye buvuddeko. Eno yali nte nduusi ngeriko n’ennyana.
Abagenyi II: Omutaka Mutesaasira yayaniriza Katikkiro w’ekika ky’enseenene, Omutaka Walusimbi, Hajji Lubega Kaddunabbi, Ssaava Sserubiri Waluŋŋama ne Ssaalongo Matovu Magoola abaali batuuse mu kiseera ekyo.
Hajji Lubega Kaddunabbi: Muzzukulu wa Nsamba ono yebaza bajjajja obuweereza.
Yasiima omulamwa gw’okumanyagana buli mwaka.
Beeyama okuwagira ebikolebwa Jjajja Mutesaasira.
Yasaba bajjajja babuulirire abantu baabwe.
Yasaba abantu okuluŋŋamyanga abakulembeze kubanga bwe basobya, baswalira wamu nabo. Yakulisa Jjajja Mutesaasira akabenje.
Ssaava Sserubiri Waluŋŋama: Muzzukulu wa Lwomwa ono yebaza Abazirango olw’okuba n’ekika. Yetonda ku lwa banne olw’obutabeera mu kkanzu awamu n’okutuuka ekikeerezi.
Yasaba Abazirango baveemu okw’esaasira n’okukola omulimu ogumu.
Yategeeza nga Eggwanga Buganda bwe yali ensonga eyali ebatambuza ku mikolo egy’enjawulo mu kiseera ekyo.
Yategeezanga Ekika Kyengo bwe kiri ekika ekikulu ennyo mu Buganda kubanga eddiba ly’engo (kuba lirina amabala abiri) lye lisumikibwa Ssaabataka okumufuula Kabaka e Nnaggalabi ate era be Bagiriinya abakola emirimu egy’enjawulo mu Bwakabaka.
Yeegayirira Abaganda bave mu kwesaasira ng’Obuganda bugwawo.
Mu kyo naabasaba bave mu kusirika balwane Buganda ereme okuva ku mwanjo!
Yategeeza nga Buganda bwe yawaayo Kampala ku liizi ya myaka 99.
Yagamba nti tajja nga kukungabagiranga muntu yenna afa ng’abadde yenyigira mu kunyaga Buganda.
Yategeeza nga Uganda bwe yali etudde ku bbomu eja okw’abika ekiseera kyonna!
Yayongerako nti Ensi Katonda yagiramba era ng’ebika yengeri yokka ey’okununula Buganda!
Ssaalongo Matovu Magoola: Muzzukulu wa Nsamba ono mukwano gwa Jjajja Mutesaasira. Yebaza Katonda olw’obulamu bwa Jjajja Mutesaasira. Yeyama Obukadde Abiri mu Butaano
(10,000,000/- – Nsawo Ya Mutesaasira, 15,000,000/- – Nsawo Ya Katikkiro W’ekika ne 25,000,000/- – Ku mulimu gw’okuzimba Ofiisi Y’Ekika).
Okufundikira:
Omutaka Mutesaasira yebaza ababasabira. Yebaza disitulikiti ye Butambala olw’okukola amakubo omuli n’agagenda e Butesaasira.
Omukolo gw’afundikirwa nga Reverand Faaza Kintu yasaba okuggalawo omukolo awamu  n’ekyemisana ng’Omutaka Mutesaasira asembeza abagenyi n’abazzukulu ku ssaawa 10:28 ez’olweggulo.

BIWANDIIKIDDWA

MWANJE BRIAN
OMUWANDIISI W’EKIKA KY’ENGO